Proverbs 3

Emikisa Egiva mu kuba n’amagezi

1 aMwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza,
era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,
2 bkubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi,
era bikukulaakulanye.

3 cAmazima n’ekisa tobyerabiranga;
byesibe mu bulago bwo,
obiwandiike ku mutima gwo.
4 dBw’otyo bw’onoofuna okuganja n’okusiimibwa
eri Katonda n’eri abantu.

5 eWeesige Mukama n’omutima gwo gwonna,
so teweesigamanga ku magezi go gokka.
6 f Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna,
naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.

7 gAmagezi go tegakusigulanga,
naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi.
8 hOnoofunanga obulamu mu mubiri gwo
n’amagumba go ne gadda buggya.

Amagezi n’Obugagga

9 i Mukama mugulumizenga n’eby’obugagga byo; n’ebibala ebisooka eby’ebintu byo byonna eby’omu nnimiro yo,
10 jolwo amaterekero go lwe ganajjulanga ebintu enkumu,
era n’amasenero go ne gajjula ne gabooga omwenge omusu.

11 kMwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama,
n’okunenya kwe kulemenga okukukooya,
12 lkubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala,
nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.

13Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi,
omuntu oyo afuna okutegeera,
14 mkubanga amagezi gasinga ffeeza
era galimu amagoba okusinga zaabu.
15 nAmagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja ag’omuwendo omungi:
era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago.
16 oMu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi;
ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga n’ekitiibwa.
17 pMu magezi mulimu essanyu,
era n’amakubo gaago ga mirembe.
18 qAmagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza;
abo abagakwata ne baganyweza baliweebwa omukisa.

19 rAmagezi, Mukama ge yakozesa okuteekawo emisingi gy’ensi;
n’okutegeera kwe yakozesa okuteekawo eggulu;
20n’okumanya kwe, kwe yakozesa okwawula obuziba bw’ennyanja,
era n’ebire ne bivaamu omusulo.

Ab’amagezi Baweebwa Ekitiibwa

21 sMwana wange, beeranga n’okuteesa okulungi n’okusalawo ebisaana,
ebyo biremenga okukuvaako,
22 tbinaabeeranga obulamu eri emmeeme yo,
era ekyokwambala ekirungi ekinaawoomesanga obulago bwo.
23 uBw’otyo bw’onootambulanga nga onyweredde mu kkubo lyo,
era ekigere kyo tekijjanga kwesittala.
24 vBw’onoogalamiranga toobenga na kutya,
weewaawo bw’oneebakanga otulo tunaakuwoomeranga.

25Totyanga kabenje kootomanyiridde,
wadde okuzikirira okujjira abakozi b’ebibi,
26 wKubanga Mukama y’anaabeeranga obwesigwa bwo,
era anaalabiriranga ekigere kyo ne kitakwatibwa mu mutego.

27Tommanga birungi abo be bisaanira
bwe kibeera mu buyinza bwo okukikola.
28 xTogambanga muliraanwa wo nti,
“Genda, onodda enkya ne nkuwa,”
ate nga kye yeetaaga okirina.

29Totegekanga kukola bulabe ku muliraanwa wo,
atudde emirembe ng’akwesiga.
30Tovunaananga muntu n’omu awatali nsonga
nga talina kabi k’akukoze.

31 yTokwatirwanga obuggya omuntu ayigganya abalala,
era tokolanga nga ye bw’akola,
32 zkubanga omuntu omugwagwa wa muzizo eri Mukama,
naye abo abagolokofu abalinamu obwesige.

33 aaEkikolimo kya Mukama kiri ku nnyumba y’ababi,
naye awa omukisa ennyumba y’abatuukirivu.
34 abDdala ddala, Mukama anyooma abanyoomi,
naye abeetoowaza abawa ekisa.
35Ab’amagezi balisikira ekitiibwa,
naye abasirusiru baliswazibwa.
Copyright information for LugEEEE